2 Samuel 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi era n'atwala ne basajja be abaali naye, buli omu, n'ennyumba ye, ne basenga mu kibuga Keburoni n'obubuga bwakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’atwala n’abasajja abaali naye, buli muntu n’amaka ge, ne basenga mu Kebbulooni ne mu byalo byakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basajja be abaali naye n'agenda nabo, buli muntu n'ab'omu nnyumba ye; ne babeera mu bibuga eby'omu Kebbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'atwala basajja be wamu n'abantu baabwe ne babeera mu bibuga ebyetoolodde Heburooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasajja be abaali naye n'abambusa, buli muntu n'ab'omu nnyumba ye: ne babeera mu bibuga eby'omu Kebbulooni.