2 Samuel 2:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'adda ng'ava okugoba Abuneri; n'addayo, n'akuŋŋaanya abantu be bonna. Ku basajja ba Dawudi, kwabulako abasajja kkumi na mwenda, nga tobaze Asaweli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’addayo ng’alese okugoba Abuneeri, n’akuŋŋaanya abasajja be. Bwe baababala, ne basanga ng’abasajja kkumi na mwenda be baali bafudde, okwo nga tobaliddeeko Asakeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu bwe yakomawo ng'ava okuwondera Abuneeri, n'akuŋŋaanya basajja be bonna, n'asanga nga kubulako kkumi na mwenda (19) nga tobaliddeemu Asakeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu bwe yakomawo ng'ava okuwondera Abuneeri, n'akuŋŋaanya basajja be bonna, n'asanga nga kubulako kkumi na mwenda nga tobaliddeemu Asayeeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'addayo ng'alese okugoberera Abuneeri: awo bwe yakuŋŋaanya abantu bonna, ku baddu ba Dawudi nga kubuzeeko abasajja kkumi na mwenda ne Asakeri.