2 Samuel 2:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ba Dawudi batta Ababenyamiini abaali ne Abuneri ebikumi bisatu mu nkaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abasajja ba Dawudi baali basse Ababenyamini ebikumi bisatu mu nkaaga ku abo abaali ne Abuneeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abasajja ba Dawudi baali basse ku ba Benyamini n'abasajja ba Abuneeri; abasajja bisatu mu nkaaga (360).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza ba Dawudi batta ebikumi bisatu mu nkaaga ku ba Abuneeri, abasibuka mu Kika kya Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaddu ba Dawudi baali bafumise bwe batyo ku Benyamini n'abasajja ba Abuneeri n'okufa ne wafa abasajja ebikumi bisatu mu nkaaga.