2 Samuel 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja mu Yuda ne bajja eyo, Dawudi ne bamusiiga omuzigo afuge ennyumba ya Yuda. Bwe baabuulira Dawudi nti abantu b'e Yabesi-Gileyaadi be baaziika Sawulo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka w’ennyumba ya Yuda. Dawudi n’ategeezebwa nti abantu ab’e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda. Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja b'omu Kika kya Yuda ne bajja mu Heburooni, ne bafuka omuzigo ku Dawudi okuba kabaka waabwe. Ne babuulira Dawudi nti ab'omu Yabesi eky'omu Gileyaadi be baaziika Sawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda. Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo.