2 Samuel 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'atuma ababaka eri abantu b'e Yabesi-Gileyaadi, n'abagamba nti: “Omukama abawe omukisa mmwe abaagirira ekisa kino mukama wammwe Sawulo ne mumuziika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abatumira ababaka okubagamba nti, “ Mukama abawe omukisa olw’ekisa n’ekitiibwa bye mwalaga Sawulo mukama wammwe ne mumuziika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'abagamba nti, “Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mumuziika!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'abatumira ababaka ng'agamba nti: “Mukama abawe omukisa, olw'ekikolwa eky'ekisa kye mwakolera mukama wammwe Sawulo okumuziika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'abagamba nti Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mumuziika.