2 Samuel 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno nammwe Omukama abagirire ekisa, abayise n'obwesigwa; nange nzija kubayisa bulungi olw'ekyo kye mwakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama abalage ekisa n’okwagala, nange ndibalaga ky’ekimu olw’ekyo kye mukoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nno Mukama abalagenga ekisa n'amazima! nange ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakola ekigambo ekirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nno Mukama abakwatirwenga ekisa era abe wa mazima gye muli. Era nange ŋŋenda kubayisa bulungi olw'ekyo kye mwakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nno Mukama abalagenga ekisa n'amazima: nange ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakola ekigambo kino.