2 Samuel 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mugume, mubeere bazira newandibadde nga mukama wammwe Sawulo afudde, kubanga nze ennyumba ya Yuda ensiize mbeere kabaka waabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kyemunaava mubeera ab’amaanyi era abavumu, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa Sawulo mukama wammwe, ennyumba ya Yuda enfuseeko amafuta okubeera kabaka waabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno emikono gyammwe gibe n'amaanyi, era mube bazira; kubanga Sawulo mukama wammwe afudde, era ennyumba ya Yuda banfuseeko amafuta okuba kabaka waabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mugume era mube bazira, kubanga newaakubadde mukama wammwe Sawulo afudde, naye ab'omu Kika kya Yuda banfuseeko omuzigo okuba kabaka waabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno emikono gyammwe gibe n'amaanyi, era mube bazira: kubanga Sawulo mukama wammwe afudde, era ennyumba ya Yuda banfuseeko amafuta okuba kabaka waabwe.