2 Samuel 20:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliyo nno omusajja empongabyoya, erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuri Omubenyamiini. Yafuuwa eŋŋombe, n'agamba nti: “Ffe Dawudi tetumulinaamu mugabo; tetulina busika mu mutabani wa Yesse. Buli muntu adde mu weema ye, Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Tetulina mugabo mu Dawudi, so tetulina busika mu mutabani wa Yese! Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja Omubenyamini ataliimu nsa erinnya lye Seba mutabani wa Bikuli, n'afuuwa ekkondeere n'ayogera nti, “Tetulina mugabo mu Dawudi so tetulina busika mu mutabani wa Yese; Abaisiraeri mwenna, buli muntu addeyo ewaabwe!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo omusajja ataliimu nsa, erinnya lye Seeba, mutabani wa Bikuri ow'omu Kika kya Benyamiini. Awo Seeba n'afuuwa ekkondeere, n'agamba nti: “Ffe tetulina mugabo mu Dawudi, wadde obusika mu mutabani wa Yesse. Abayisirayeli, buli muntu adde ewaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omusajja wa Beriali yali ali eyo, erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini: n'afuuwa ekkondeere n'ayogera nti Tetulina mugabo mu Dawudi so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde buli muntu mu weema ze, ggwe Isiraeri.