2 Samuel 20:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amasa yali teyekengedde kitala kyali mu mukono gwa Yowabu; Yowabu n'akimusogga mu lubuto, ebyenda ne biyiika ku ttaka; teyamufumita gwa kubiri, n'afa. Yowabu ne Abisayi ne bawondera Seba mutabani wa Bikuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Amasa n'atassaayo mwoyo eri ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; n'amufumisa ekyo olubuto n'ayiwa ebyenda bye wansi n'atamufumita lwa kubiri; Amasa n'afa. Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Seba mutabani wa Bikuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Amasa n'atassaayo mwoyo ku kitala, Yowaabu kye yali akutte. Awo Yowaabu n'akifumisa Amasa mu lubuto, ebyenda ne biyiika wansi, n'atamufumita gwakubiri. Amasa n'afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne bawondera Seeba mutabani wa Bikuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Amasa n'atassaayo mwoyo eri ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu: n'amufumisa ekyo olubuto n'ayiwa ebyenda bye wansi n'atamufumita lwa kubiri; n'afa. Yowaabu ne Abisaayi muganda we ne bayigganya Seba mutabani wa Bikuli.