2 Samuel 20:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku baweereza ba Yowabu n'ayimirira kumpi n'omulambo gwa Amasa, n'agamba nti: “Awagira Yowabu n'awagira Dawudi agoberere Yowabu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu ku basajja ba Yowaabu n'ayogera nti, “Ayagala Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi agoberere Yowaabu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku basajja ba Yowaabu n'ayimirira kumpi ne Amasa n'agamba nti: “Ayagala Yowaabu, era n'oyo ali ku ludda lwa Dawudi, agoberere Yowaabu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wayimirira wali omu ku balenzi ba Yowaabu n'ayogera nti Ayagala Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi agoberere Yowaabu.