2 Samuel 20:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Amasa yali aboyaanira mu musaayi gwe mu kkubo wakati. Omusajja n'alaba nga buli muntu eyatuukanga awali Amasa ayimirira. Kwe kumukululawo mu kkubo, n'amussa ebbali ku nsiko, n'amusuulako olugoye, anti ng'alaba nga buli eyamutuukangako ng'ayimirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Buli eyayitangawo n'amulaba, ng'ayimirira. Omusajja wa Yowaabu bwe yalaba ng'abantu bonna bayimirira, n'aggya Amasa mu luguudo, n'amutwala mu nsiko, n'amubikkako ekyambalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Buli eyayitangawo n'amulaba, ng'ayimirira. Omusajja wa Yowaabu bwe yalaba ng'abantu bonna bayimirira, n'aggya Amasa mu luguudo, n'amutwala mu nsiko, n'amubikkako ekyambalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Awo omusajja oyo bwe yalaba ng'abantu bonna bayimiridde buyimirizi, n'asitula Amasa n'amuggya mu luguudo n'amutwala ku ttale, n'amusuulako ekyambalo, bwe yalaba buli amuyitako ng'ayimirira.