2 Samuel 20:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bamuggya mu kkubo, abantu bonna ne bayitawo buyisi, ne bagoberera Yowabu bagende bawondere Seba mutabani wa Bikuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yaggibwa mu luguudo, abantu bonna ne beyongerayo nga bagoberera Yowaabu, okuwondera Seba mutabani wa Bikuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amasa bwe yamala okuggyibwa mu luguudo, abantu bonna ne bagenda ne Yowaabu okuwondera Seeba mutabani wa Bikuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yaggibwa mu luguudo, abantu bonna ne beeyongerayo nga bagoberera Yowaabu, okuyigganya Seba mutabani wa Bikuli.