2 Samuel 20:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'asembera gy'ali, n'amugamba nti: “Ggwe Yowabu?” N'ayanukula nti: “Ye nze.” Omukazi n'agamba nti: “Wulira omuzaana wo ky'agamba.” Ye n'ayanukula nti: “Mpulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?” N’addamu nti, “Nze nzuuyo.” N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.” N’addamu nti, “Mpuliriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amusemberera; omukazi n'amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?” N'addamu nti, “Nze nzuuyo.” N'alyoka amugamba nti, “Wulira ebigambo eby'omuzaana wo.” N'addamu nti, “Mpulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'amusemberera. Omukazi n'abuuza nti: “Ggwe Yowaabu?” Yowaabu n'amuddamu nti: “Nze wuuyo.” Omukazi n'amugamba nti: “Nkusaba owulirize bye nkugamba nze omuweereza wo.” Yowaabu n'amuddamu nti: “Mpuliriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amusemberera; omukazi n'ayogera nti Ggwe Yowaabu? N'addamu nti Nze nzuuyo. N'alyoka amugamba nti Wulira ebigambo eby'omuzaana wo. N'addamu nti Mpulira.