2 Samuel 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'agamba nti: “Edda baageranga nti: ‘Oba beebuuza, beebuuze mu Abeli,’ olwo ensonga ne ziggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi n'agamba nti, “Ab'edda baagambanga nti, ‘Tugende twebuuze amagezi e Yaberi.’ Era baamalirangayo ebibasobedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi n'agamba nti: “Ab'edda baagambanga nti: ‘Tugende twebuuze mu Abeli.’ Era baamalirangayo ebibasobedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka ayogera nti Edda baayogeranga nti Tebalirema kubuuliza magezi e Yaberi: ne bamalira awo ekigambo.