2 Samuel 20:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abantu bonna aba Yisirayeli ne baawukana ne Dawudi, ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuri; bo abantu ba Yuda ne basigala ku kabaka waabwe; ne bajja naye okuva ku Yorudani okutuuka e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abaisiraeri bonna ne baabulira Dawudi, ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Kyokka ab'omu kika kya Yuda ne banywerera ku kabaka waabwe, ne bagenda naye okuva ku Yoludaani okutuuka mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli bonna ne baabulira Dawudi, ne bagoberera Seeba mutabani wa Bikuri. Kyokka ab'omu Kika kya Yuda ne banywerera ku kabaka waabwe, ne bagenda naye okuva ku Yorudaani okutuuka mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ba Isiraeri bonna ne baddayo okuleka okugoberera Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli: naye abasajja ba Yuda ne beegatta ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi.