2 Samuel 20:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si bwe guli; wabula omusajja ayitibwa Seba avudde mu nsozi za Efurayimu, mutabani wa Bikuri asitudde omukono gwe okulwanyisa Dawudi. Oyo gwe muba mumpa ekibuga nkireke.” Omukazi n'agamba Yowabu nti: “Omutwe gwe tujja kuguyisa ku kigo waggulu tugukukasukire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo si bwe kiri wabula waliwo omusajja erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, ow'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu ajeemedde kabaka Dawudi. Kale mumuweeyo oyo yekka, olwo nja kuleka ekibuga.” Omukazi n'agamba Yowaabu nti, “Tujja kukasukira omutwe gwe nga tugubusa bbugwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo si bwe kiri wabula waliwo omusajja erinnya lye Seeba, mutabani wa Bikuri, ow'omu nsi ey'ensozi eya Efurayimu ajeemedde Kabaka Dawudi. Kale mumuweeyo oyo yekka, olwo nja kuleka ekibuga.” Omukazi n'agamba Yowaabu nti: “Tujja kukukasukira omutwe gwe nga tugubuusa ekisenge.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo si bwe kiri bwe kityo: naye omusajja ow'ensi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Seba mutabani wa Bikuli, agololedde omukono gwe ku kabaka, ku Dawudi: mumuweeyo ye yekka, nange n'ava ku kibuga. Omukazi n'agamba Yowaabu nti Laba, omutwe gwe gunaakasukibwa eri ggwe ku bbugwe.