2 Samuel 20:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'agenda eri abantu bonna n'ayogera nabo n'amagezi ge. Ne batemako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuri ne bagukasukira Yowabu. Ye n'afuuwa eŋŋombe, ne bava ku kibuga, buli omu n'akwata eridda mu weema ye; Yowabu n'adda e Yeruzaalemu ewa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'abawa amagezi. Ne basalako Seba mutabani wa Bikuli omutwe ne bagukasukira Yowaabu. Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere, basajja be ne baleka ekibuga, buli omu n'addayo ewaabwe ne Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi eri kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'abawa amagezi. Ne batemako omutwe gwa Seeba mutabani wa Bikuri, ne bagukasuka eri Yowaabu. Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere, basajja be ne baamuka ekibuga, buli omu n'adda ewuwe. Ne Yowaabu n'addayo e Yerusaalemu eri kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'amagezi ge. Ne bamusalako omutwe Seba mutabani wa Bikuli, ne bagukasuka eri Yowaabu. N'afuuwa ekkondeere, ne basaasaana okuva ku kibuga, buli muntu mu weema ve. Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi eri kabaka.