2 Samuel 20:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Amasa nti: “Kunga basajja ba Yuda bonna bajje wano mu nnaku ssatu, naawe obeerangawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Amasa nti, “Kuŋŋaanya abasajja ba Yuda ennaku ssatu nga tezinnayitawo, naawe ojje nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba Amasa nti: “Mpitira ab'omu Kika kya Yuda, bakuŋŋaane mu nnaku ssatu, era naawe obeerewo wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Amasa nti Mpitira abasajja ba Yuda bakuŋŋaane ennaku ssatu nga tezinnayitawo, naawe obeeranga wano.