2 Samuel 20:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amasa n'agenda okukunga Yuda naye yayisaamu mu budde obwamupimirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amasa n'agenda okukuŋŋaanya ab'ekika kya Yuda; naye n'asussa mu nnaku kabaka zeyamuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amasa n'agenda okuyita ab'omu Kika kya Yuda, wabula n'asussa mu nnaku ze baamuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amasa n'agenda okukuŋŋaanya Yuda: naye n'amala ebiro okukira bye yamuteekerawo.