2 Samuel 20:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Abisayi nti: “Ono Seba mutabani wa Bikuri ayinza okutukola obubi okusinga ne Abusalomu. Ddira abaweereza ba mukama wo, omuwondere, sikulwa ng'agguka mu bibuga ebiriko ebigo n'atudduka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli ajja kutukola akabi akasinga aka Abusaalomu ke yakola; Kale nno twala abaddu ba mukama wo omuwondere aleme okugenda mu bibuga ebiriko enkomera n'awona.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba Abisaayi nti: “Seeba mutabani wa Bikuri ajja kutukolako akabi n'okusinga Abusaalomu. Kale twala abaweereza ba mukama wo, omuwondere, sikulwa ng'asanga ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'ayingira omwo n'atubulako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Abisaayi nti Kaakano Seba mutabani wa Bikuli alitukola obubi okusinga Abusaalomu bwe yakola: twala abaddu ba mukama wo omugoberere aleme okugenda mu bibuga ebiriko enkomera n'awona okuva mu maaso gaffe.