2 Samuel 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ba Yowabu, Abakereti, Abapeleti, n'abasajja abazira bonna, ne bava mu Yeruzaalemu okuwondera Seba mutabani wa Bikuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ba Yowaabu, Abakeresi n'Abaperesi, n'abasajja abalala bonna ab'amaanyi, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda ne Abisaayi okuwondera Seba mutabani wa Bikuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja ba Yowaabu, Abakereti n'Abapeleti, n'abasajja abalala bonna ab'amaanyi, ne bava mu Yerusaalemu ne bagenda ne Abisaayi okuwondera Seeba mutabani wa Bikuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wafuluma okumugoberera abasajja ba Yowaabu n'Abakeresi n'Abaperesi n'abasajja bonna ab'amaanyi: ne bava mu Yerusaalemi okuyigganya Seba mutabani wa Bikuli.