2 Samuel 20:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bali kumpi n'ejjinja eddene eriri mu Gibewoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'olutalo okwali ekimyu mu kiwato kye, nga ku kyo kusibiddwako ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yasembera ekitala ne kisowokayo mu kiraato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri e Gibyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowaabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'entalo ng'asibye mu kiwato kye olukoba, nga kuliko n'ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yavaayo n'ajja, ne kisowokamu ne kigwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri e Gibiyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowaabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'entalo ng'asibye mu kiwato kye olukoba, nga kuliko n'ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yavaayo n'ajja, ne kisowokamu ne kigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri mu Gibyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Era Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby'entalo bye yayambala, era nga kuliko olukoba n'ekitala nga kisibiddwa mu kiwato kye mu kiraato kyakyo; awo ng'afuluma n'ekisowokamu ne kigwa.