2 Samuel 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'alamusa Amasa nti: “Mirembe, muganda wange.” N'akwata akalevu ka Amasa n'omukono ogwa ddyo ng'agenda okumunywegera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'agamba Amasa nti, “Oli mirembe, muganda wange?” Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'agamba Amasa nti: “Oli mirembe, muganda wange?” Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'agamba Amasa nti Oli mirembe, muganda wange? Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera.