2 Samuel 21:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwatuuka, mu mirembe gya Dawudi, enjala n'egwa, n'emalira ddala emyaka esatu. Dawudi ne yeeebuuza ku Mukama, Omukama n'amugamba nti: “Lwa Sawulo n'ennyumba ye abaayiwa omusaayi, kubanga yatta Abagibewoni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi okumala emyaka esatu (3) egiddiriraŋŋana; Dawudi ne yeebuuza ku Mukama. Kino kize lwa Sawulo ne nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga Sawulo yatta Abagibyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ku mulembe gwa Dawudi waaliwo enjala nnyingi okumala emyaka esatu egiddiriŋŋana. Dawudi n'agenda ne yeebuuza ku Mukama. Mukama n'agamba nti: “Lwa Sawulo n'ab'omu nnyumba ye abalina omusango gw'obutemu, kubanga Sawulo yatta Abagibiyoni.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi emyaka esatu buli mwaka nga guddirira gunnaagwo; Dawudi n'anoonya amaaso ga Mukama. Mukama n'ayogera nti Lwa Sawulo na lwa nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.