2 Samuel 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rizupa, muwala wa Aya n'addira ekideeya n'akyeyaliirira ku lwazi okuva mu masooka g'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatonnya ku mirambo ng'eva mu ggulu; emisana teyaganya binyonyi bya mu bbanga kugituukako, ate ekiro ng'aziyiza ebisolo by'omu nsiko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Lizupa muwala wa Aya, n'atwala ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku ntandikwa y'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatandika okutonnya n'ekuba emirambo egyo. Emisana n'ekiro n'atakkiriza binyonyi wadde ebisolo okugirya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Rizupa, muwala wa Aya, n'atwala ekikutiya, n'akyeyalira ku lwazi, okuva ku ntandikwa y'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatandika okutonnya n'ekuba emirambo egyo. Emisana n'ekiro n'atakkiriza binyonyi wadde ebisolo okugirya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Lizupa muwala wa Aya n'addira ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku makungula we gaasookera okutuusa amazzi lwe gabafukibwako agava mu ggulu; n'ataganya nnyonyi za mu bbanga kubagwako emisana newakubadde ensolo ez'omu nsiko ekiro.