2 Samuel 21:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baziika amagumba ga Sawulo n'aga Yonatani mutabani we mu biggya bya kitaawe Kisi e Zela mu Benyamiini. Ne bakola byonna kabaka bye yali abalagidde. Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'addiramu ensi olw'okwegayirira kwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe; ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda n'ayanukula okusaba kw'Abagibyoni kwe basabira ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagumba ga Sawulo n'aga Yonataani mutabani we, ne bagaziika mu nsi ya Benyamiini mu Zela, ku kiggya kya Kiisi kitaawe wa Sawulo. Ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Ebyo bwe byaggwa, Katonda n'akkiriza bye basabira ensi yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe: ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda ne yeegayirirwa ensi.