2 Samuel 21:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo era olutalo wakati w'Abafilisitiini n'Abayisirayeli. Dawudi n'aserengeta n'eggye balwanyise Abafilisitiini, n'akoowa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti ne baddamu okulwana ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be okulwana n'Abafirisuuti; Dawudi n'akoowa nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafilistiya ne baddamu okulwana n'Abayisirayeli. Dawudi n'aserengeta n'abaweereza be, ne balwana n'Abafilistiya. Dawudi n'akoowa nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti ne balwana nate ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be wamu naye n'alwana n'Abafirisuuti: Dawudi n'ayongobera.