2 Samuel 21:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abisayi, mutabani wa Zeruya n'ataasa Dawudi; yakuba Omufilisitiini n'amutta. Basajja ba Dawudi ne balayira nti: “Tojja kuddamu kujja naffe mu lutalo, sikulwa ng'ozikiza omumuli gwa Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amudduukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti, “Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'adduukirira Dawudi, n'afumita Omufilistiya oyo, n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti: “Tokyaddamu kugenda naffe mu lutalo, oleme okuzikiza ettaala ya Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amuddukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri.