2 Samuel 21:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lwa bino waaliwo era olutalo mu Gobu n'Abafilisitiini; olwo Sibbekayi Omukusa n'atta Safu owa Rafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu; awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu omu ku baana be ssajja liri eriwagguufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo olutalo nate n'Abafilistiya e Gobu. Awo Sibbekaayi ow'e Huusa n'atta Safu, omu ku bazzukulu b'omusajja omuwagguufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu ow'oku baana b'erintu liri.