2 Samuel 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'ayita Abagibewoni, n'ayogera nabo. Kati nno Abagibewoni si Bayisirayeli, wabula Bammori abaasigalira. Abayisirayeli baali balayidde okubataliza, naye Sawulo n'ayagala okubazikiriza mbu olw'okutakabanira Yisirayeli n'abantu ba Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.)
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'ayita Abagibyoni n'ayogera nabo. Abagibyoni tebaali ba Isiraeri wabula Abamoli abasigalawo, Abaisiraeri baali bakoze nabo endagaano obutabatta; naye Sawulo olw'okulumirwa Abaisiraeri ne Yuda n'ayagala okubatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayita Abagibiyoni n'abaako ky'abagamba. Abagibiyoni abo, tebaali Bayisirayeli, wabula Baamori abaasigalawo. Newaakubadde ng'Abayisirayeli baali babalayiridde obutabatta, kyokka Sawulo olw'okulumirwa Abayisirayeli n'ab'omu Kika kya Yuda n'ayagala okubatta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayita Abagibyoni n'abagamba: (era Abagibyoni tebaali ba ku baana ba Isiraeri naye ba ku kitimdu ekyasigala eky'Abamoli; n'abaana ba Isiraeri baali babalayiridde: Sawulo n'ayagala okubatta ng'akwatiddwa obuggya olw'abaana ba Isiraeri ne Yuda:)