2 Samuel 21:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era waaliwo olutalo mu Gati omwali omusajja omuwagguufu, eyalina engalo mukaaga ku buli kibatu n'obugere mukaaga ku buli kigere; byonna wamu amakumi abiri mu bina. N'oyo naye yali asibuka mu Rafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga (6) ku buli mukono n'obugere omukaaga (6) ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina (24), era naye yali mutabani we ssajja liri eriwagguufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne wabaawo olutalo olulala e Gaati, nga mulimu omusajja omuwagguufu eyalina engalo mukaaga ku buli kibatu, n'obugere mukaaga ku buli kigere, byonna wamu amakumi abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu wa musajja omuwagguufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga ku buli mukono n'obugere omukaaga ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina; era naye yazaalirwa erintu liri.