2 Samuel 21:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Abagibewoni nti: “Mbakolere ki? Mbagatte ki, mulyoke muwe omukisa obusika bw'Omukama?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abuuza Abagibyoni nti, “Kiki kyemba mbakolera era mutango ki gwemba mbawa mulyoke musabire abantu ba Katonda omukisa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Abagibiyoni nti: “Kiki kye mba mbakolera? Era mutango ki gwe mba mbawa mulyoke musabire abantu ba Katonda omukisa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Abagibyoni nti Naabakolera ki? era naatangirira na ki, mulyoke musabire omukisa obusika bwa Mukama?