2 Samuel 21:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagibewoni ne bagamba nti: “Tetulina buyinza kusaba ffeeza oba zaabu okuva ewa Sawulo oba mu nnyumba ye, era tetulina buyinza kutta muntu mu nnyumba ya Yisirayeli.” Dawudi n'ababuuza nti: “Mwagala mbakolere ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Oluyombo lwaffe ne Sawulo n'ab'omu nnyumba ye, teruyinza kuliyirirwa na ffeeza oba na zaabu; so tetwagala muntu yenna mu Isiraeri kuttibwa ku lwaffe.” Dawudi n'abagamba nti, “Kati mugamba ki kyemba mbakolera?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagibiyoni ne bamuddamu nti: “Tetwagala ffeeza wadde zaabu okuva ku Sawulo wadde ku b'omu nnyumba ye. Era tetwagala muntu n'omu attibwe mu Yisirayeli ku lwaffe.” Dawudi n'abagamba nti: “Kye munaagamba, kye nnaabakolera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abagibyoni ne bamugamba nti si kigambo kya ffeeza oba zaabu eri ffe ne Sawulo oba nnyumba ye; so tekitusaanira kutta muntu yenna mu Isiraeri. N'ayogera nti Kye munaayogera naakibakolera.