2 Samuel 21:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba kabaka nti: “Omuntu eyali atusaanyaawo, eyeeteesa okutubunya emiwabo tubulweko akafo mu Yisirayeli wonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba kabaka nti, “Omusajja eyatusalira amagezi okutuzikiriza tuleme kubeera na kifo kyonna mu Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba kabaka nti: “Omusajja eyayagala okutuzikiriza n'atusalira amagezi okutusaanyaawo ng'ayagala ekifo kye tubeeramu kireme kuba mu nsi ya Yisirayeli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagamba kabaka nti Omusajja eyatuzikiriza n'atusalira amagezi, tumalibwewo obutabeera mu nsalo zonna eza Isiraeri,