2 Samuel 21:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tuweebweyo abasajja musanvu okuva mu zzadde lye, bababambe mu maaso g'Omukama mu Gibewoni, ku lusozi lw'Omukama.” Kabaka n'agamba nti: “Nzija kubabawa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
batuwe abasajja musanvu (7) ku batabani be, tubawanikire mu maaso ga Mukama e Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama.” Kabaka n'ayogera nti, “Ndibawaayo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wabeewo abasajja musanvu ku bazzukulu be, batuweebwe tugende tubawanike mu maaso ga Mukama e Gibeya, ekibuga kya Sawulo eyalondebwa Mukama.” Kabaka n'abaddamu nti: “Nja kubabawa mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
baweeyo eri ffe abasajja musanvu ku batabani be, tubawanike eri Mukama mu Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama. Kabaka n'ayogera nti Ndibawaayo.