2 Samuel 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka yataliza Mefiboseti mutabani wa Yonatani, mutabani wa Sawulo, olw'okubeera ekirayiro Dawudi kye yali akoze ne Yonatani mutabani wa Sawulo mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo kyebalayiragana mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka kabaka n'ataliza Mefiboseti mutabani wa Yonataani omwana wa Sawulo, olw'omukago Dawudi ne Yonataani mutabani wa Sawulo gwe batta nga balayira Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro kya Mukama ekyali wakati waabwe, wakati wa Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo.