2 Samuel 21:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka n'addira abalenzi babiri: Arumoni ne Mefiboseti, batabani ba Rizupa muwala wa Aya be yazaalira Sawulo: Arumoni ne Mefiboseti, n'abalenzi abalala bataano aba Merabu muwala wa Sawulo be yali azaalidde Aduryeli, mutabani wa Baruzillayi Omumekola,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kabaka n'alondamu Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya be yazaalira Sawulo; Alumoni ne Mefibosesi; ne batabani ba Merabu muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula kabaka n'aggyayo Arumoni ne Mefiboseti batabani ba Rizupa muwala wa Aya, Rizupa oyo be yazaalira Sawulo. N'aggyayo n'abaana ab'obulenzi bataano, aba Mikali muwala wa Sawulo, Mikali oyo be yazaalira Adriyeri mutabani wa Baruzillayi ow'e Mehola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kabaka n'atwala batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi, be yazaalira Sawulo, Alumoni ne Mefibosesi: ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi: