2 Samuel 21:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abawaayo mu mikono gy'Abegibewoni, ne bababamba ku lusozi mu maaso g'Omukama. Abo omusanvu ne bagwa lumu; battibwa mu nnaku ezisooka ez'amakungula, ng'amakungula ga sayiri gasooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abawaayo eri Abagibyoni, ne babawanika mu maaso ga Mukama ku lusozi, bonna omusanvu (7) ne bafiira wamu. Battibwa mu nnaku z'amakungula ezisooka, we batandikira okukungula sayiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abawaayo eri Abagibiyoni, ne babawanika mu maaso ga Mukama ku lusozi. Bonna omusanvu ne bafiira wamu. Battibwa mu nnaku z'amakungula ezisooka, we batandikira okukungula bbaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abawaayo mu mikono gy'Abagibyoni, ne babawanikira ku lusozi mu maaso ga Mukama, ne bafiira wamu (bonna) omusanvu: era battibwa mu biro eby'amakungula nga kyebijje bisooke, amakungula ga sayiri nga gatanudde okubaawo.