2 Samuel 22:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yayimbira Omukama oluyimba luno ku lunaku Omukama lwe yamuwonya mu mikono gy'abalabe be bonna ne mu ngalo za Sawulo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’ayimbira Mukama ebigambo eby’oluyimba luno, Mukama bwe yamulokola mu mukono gw’abalabe be ne mu mukono gwa Sawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ayimbira Mukama oluyimba luno, ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu gwa Sawulo; nga agamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'ayimbira Mukama oluyimba luno, ku lunaku Mukama lwe yamuwonya Sawulo n'abalabe be abalala bonna. Yagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Mukama ebigambo eby'oluyimba luno ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo: