2 Samuel 22:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiwonvu by'ennyanja ne byeyerula, emisingi gy'enkulungo y'ensi ne girabika, Omukama bwe yaboggola, omukka gw'emivumbo gye bwe gwafuuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa n’emisingi gy’ensi ne gyeruka olw’okunenya kwa Mukama n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Olw'okunenya kwa Mukama, N'olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bwe yakayuka era bwe yafuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze, entobo y'ennyanja n'erabika, n'emisingi gy'ensi ne gyeyerula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Olw'okunenya kwa Mukama, Olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze.