2 Samuel 22:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama yampeera ng'agerera ku butuukirivu bwange; yanziriza ng'agerera ku butukuvu bw'emikono gyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama yampa empeera yange ng’obutuukirivu bwange bwe bwali; n’ansasula ng’obulongoofu bwe ngalo zange bwe buli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Naansasula ng'ebikolwa byange ebirungi bwebyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yampa empeera, kubanga nali mwenkanya. Yansasula kubanga nakola ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ansasudde ng'obulongoofu bw'engalo zange bwe bwali.