2 Samuel 22:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku mutuufu weeraga bw'oli omutuufu; ku muntu ataliiko musango weeraga bw'otoliiko musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa; n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa, Awali omuntu eyatuukirira obeera mutuukirivu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli wa kisa eri ab'ekisa, oli wa mazima eri ab'amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa, Awali omuntu eyatuukirira oneeraganga mutuukirivu;