2 Samuel 22:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda wange lwe lwazi lwange, mwe nzirukira; engabo yange, amaanyi g'obulokofu bwange, bbugwe wange, obuddukiro bwange; omulokozi wange, omponya mu bubenje.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka, ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi bwange. Kye kiddukiro kyange, mwe nneekweka era ye mulokozi wange; ggwe ondokola eri abantu ababi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga; Engabo yange, era amaanyi ag'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange; Omulokozi wange, ggwe omponya obukambwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ge maanyi gange; ye gwe nneesiga. Ye ngabo yange, era ye andokola. Gwe munaala gwange omuwanvu, era ekiddukiro kyange. Omulokozi wange, ggwe omponya abakambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda ow'olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga; Engabo yange, era ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange; Omulokozi wange, ggwe omponya mu kyejo.