2 Samuel 22:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga ndi naawe n'eggye ndirumba, Nga ndi ne Katonda wange mpalampa ne bbugwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lulwe mpangula eggye, era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lulwo nyanguwa okulumba eggye, Ku lwa Katonda wange nsobola okubuuka ekigo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe onnyamba okulumba eggye. Ayi Katonda wange, ggwe ompa amaanyi okubuuka ekigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku lulwo nziruka mbiro ne nnumba ekibiina: Ku lwa Katonda wange mbuuka ekigo: