2 Samuel 22:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Katonda ono, ekkubo lye temuli bbala. Ekigambo ky'Omukama kitukuze na muliro; Ye ngabo ya bonna abaddukira gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkubo lya Katonda golokofu, n’ekigambo kye kituukirira; era ngabo eri abo bonna abaddukira gy’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ono ekkubo lye lyatuukirira; Ebisuubizo bya Mukama byesigibwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ono, ebikolwa bye byatuukirira, ebyo by'asuubiza byesigibwa. Ye ataasa bonna abamwesiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakemebwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga.