2 Samuel 22:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Katonda ankindikidde amaanyi, ekkubo lyange alittaanyizza ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda kye kiddukiro kyange, era alongoosa ekkubo lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ono kye kiddukiro kyange eky'amaanyi; Era afuula ekkubo lyange ery'e ddembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda kye kigo kyange ekigumu, ye andagirira ekkubo eritaliimu kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda kye kigo kyange eky'amaanyi: Era aluŋŋamya eyatuukirira mu kkubo lye.