2 Samuel 22:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabamerengula ng'enfuufu y'ettaka, nabasambirira ne mbalinnyirira ng'ebitoomi by'omu kkubo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabasekulasekula ne bafuuka ng’enfuufu ey’oku nsi, ne mbabetenta, ne mbalinnyirira ne bafuuka ng’ebitosi eby’omu nguudo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne mbasekulirasekulira ddala ne bafuuka ng'enfuufu. Nembasambirira ng'ebisooto eby'omu luguudo ne mbasaasaanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbasekulasekula ne bafuuka ng'enfuufu. Nabalinnyirira ng'ebisooto eby'omu nguudo, ne mbasaasaanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne mbasekulirasekulira ddala ng'enfuufu ey'oku nsi, Nabasamba ng'ebitosi eby'omu nguudo ne mbasaasaanya.