2 Samuel 22:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wamponya ennyombo z'abantu bange, wankuuma ng'omutwe gwa mawanga; abantu be nali simanyi bampeereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ondokodde mu nnumbagana ez’abantu bange, n’onfuula omukulu w’amawanga; abantu be saamanya be bampeereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omponyezza empaka z'abantu bange; N'onfuula omufuzi w'amawanga; Abantu be ssimanyangako kati bampeereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omponyezza okwegugunga kw'abantu bange, n'onfuula omufuzi w'amawanga. Abantu be simanyanga, balimpeereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omponyezza mu kuwakana kw'abantu bange; N'onkuuma okuba omutwe gw'amawanga: Eggwanga lye ssimanyanga Lirimpeereza.