2 Samuel 22:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
antaasa ku balabe bange. Wangulumiza ku bannumba, wamponya abantu abakambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
anziggya mu balabe bange. Wangulumiza okusinga abalabe bange, n’ondokola okuva mu basajja abakambwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amponya mu balabe bange; Weewaawo, ongulumizizza okusinga abo abannumba; Nomponya eri omusajja omukambwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anzigya mu mikono gy'abalabe bange. Weewaawo, ayi Mukama, ongulumiza okusinga abannumba, omponya abantu abajjudde obukambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anziya mu balabe bange: Weewaawo, ongulumiza okusinga abo abangolokokerako: Omponya eri omusajja ow'ekyejo.