2 Samuel 22:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyendiva nkugulumiza mu mawanga, ayi Mukama; ndiyimbira erinnya lyo ettendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenaava nkutenderezanga, Ayi Mukama Katonda, mu mawanga gonna, era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyennaava nkwebaza, ayi Mukama, mu mawanga, Ne nnyimba okutendereza erinnya lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyennaava nkutenda mu mawanga, ayi Mukama, ne nnyimba okukutendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyennaava nkwebaza, ai Mukama, mu mawanga, ne nnyimba okutendereza erinnya lyo.